Jeremiah 36:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu bonna wamu ne batuma Yudi mutabani wa Nataniya, mutabani wa Selemiya, mutabani wa Kuusi, ewa Baruku okumugamba nti: “Omuzingo ogwo gw'osomedde abantu gukwate, ojje.” Ne Baruku mutabani wa Neriya n'akwata omuzingo, n'ajja gye bali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abakungu bonna ne batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki amugambe nti, “Leeta omuzingo gw’osomedde abantu, naawe ojje.” Awo Baluki mutabani wa Neriya n’atwalira omuzingo mu mikono gye n’agubaleetera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakungu bonna kyebaava batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya, Nesaniya mutabani wa Seremiya, Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki bamugambe nti, “Kwata omuzingo gw'ekitabo gw'osomedde abantu mu mukono gwo, ojje.” Awo Baluki mutabani wa Neriya n'akwata omuzingo mu mukono gwe n'ajja gye baali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakungu ne batuma Yehudi, mutabani wa Netaniya, muzzukulu wa Selemiya, era muzzukulu wa Kuusi, okugamba Baruku okuleeta omuzingo gw'ekitabo gwe yasomera abantu. Baruku n'aguleeta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakungu bonna kyebaava batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki nga boogera nti Ddira omuzingo gw'ekitabo mw'osomye mu matu g'abantu mu mukono gwo, ojje. Awo Baluki mutabani wa Neriya n'addira omuzingo mu mukono gwe n'ajja gye baali.