Jeremiah 36:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baawulira ebigambo bino byonna, ne batya, buli omu n'atunula ku munne, ne bagamba nti: “Tuteekwa bino byonna okubibuulira ku kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baawulira ebigambo ebyo byonna, buli omu n’atunula ku munne ng’atidde ne bagamba Baluki nti, “Tuteekwa okubuulira kabaka ebigambo bino byonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baamala okuwulira ebigambo ebyo byonna, ne batunulaganako nga batidde, ne bagamba Baluki nti, “Tetuuleme kubuulira kabaka ebigambo ebyo byonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okubiwulira byonna, ne batunulaganako nga batidde. Ne bagamba Baruku nti: “Ebigambo ebyo byonna tetuuleme kubitegeeza kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baamala okuwulira ebigambo byonna, ne batunulaganako nga batya, ne bagamba Baluki nti Tetuuleme kubuulira kabaka ebigambo ebyo byonna.