Jeremiah 36:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baruku n'abaddamu nti: “Ebigambo bino yabiŋŋamba nze eno nga mbiwandiika ne bwino mu kitabo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baluki n’abaddamu nti, “Weewaawo ye yayogedde ebigambo bino byonna, nze ne mbiwandiika ne bwino ku muzingo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Baluki n'abaddamu nti, “Ye yambuulira ebigambo n'akamwa ke, nange ne mbiwandiika ne bwino mu muzingo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baruku n'addamu nti: “Yeremiya yennyini ye yambuulidde ebigambo ebyo, ne nkwata akafumu ne bwino ne mbiwandiika.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Baluki n'abaddamu nti Ye yambuulira ebigambo ebyo byonna n'akamwa ke, nange ne mbiwandiika ne buyino.