Jeremiah 36:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kwata omuzingo gw'ekitabo, owandiike ebigambo byonna bye nakubuulira ku Yisirayeli, ku Yuda ne ku mawanga gonna, okuva ku lunaku lwe natandikirako okwogera naawe mu mirembe gya Yosiya n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Twala omuzingo gw’empapula oguwandiikeko ebigambo byonna bye njogedde naawe ebikwata ku Isirayiri, ne Yuda n’amawanga gonna okuva mu biseera bye natandika okwogera naawe okuva mu bufuzi bwa Yosiya okutuusa kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ddira omuzingo gw'ekitabo, owandiike omwo ebigambo byonna bye nkubuulidde ebikwata ku Isiraeri, ne ku Yuda, ne ku mawanga gonna, okuva ku lunaku lwe nnayogera naawe, okuva ku mirembe gya Yosiya n'okutuusa leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ddira omuzingo gw'ekitabo, owandiikeko byonna bye nkutegeezezza, ebifa ku Yisirayeli ne ku Buyudaaya, ne ku mawanga gonna, okuva ku lunaku lwe natandika okwogera naawe, nga Yosiya ye kabaka, n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddira omuzingo gw'ekitabo, owandiike omwo ebigambo byonna bye nnakubuuliranga eri Isiraeri n'eri Yuda n'eri amawanga gonna, okuva ku lunaku lwe nnayogera naawe, okuva ku mirembe gya Yosiya, ne leero.