Jeremiah 36:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bamaze okutereka omuzingo mu kisenge kya Elisama omuwandiisi, baagenda ewa kabaka, mu luggya lw'olubiri lwa kabaka ne bategeeza kabaka ebyo byonna ye ng'awuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baamala okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi, ne bagenda eri kabaka mu luggya ne bamutegeeza byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bayingira eri kabaka mu luggya; nga bamaze okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi; ne babuulira kabaka ebigambo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakungu ne batereka omuzingo gw'ekitabo mu kisenge kya Elisaama omuwandiisi, ne bagenda eri kabaka mu luggya, ne bamutegeeza byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bayingira eri kabaka mu luggya; naye nga bamaze okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi; ne babuulira ebigambo byonna mu matu ga kabaka.