Jeremiah 36:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'atuma Yudi anone omuzingo, ne Yudi n'aguleeta okuva mu kisenge kya Elisama omuwandiisi, n'agusomera kabaka ng'eno n'abakungu bamuyimiridde ku lusegere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’atuma Yekudi okuleeta omuzingo, Yekudi n’aguleeta okuva mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi agusomere kabaka n’abakungu bonna abaali bamuyimiridde ku lusegere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'atuma Yekudi okukima omuzingo, era n'aguggya mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi. Awo Yekudi n'agusomera kabaka, n'abakungu be bonna abaayimirira okuliraana kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'atuma Yekudi aleete omuzingo gw'ekitabo. Yehudi n'aguggya mu kisenge kya Elisaama omuwandiisi, n'agusomera kabaka n'abakungu be bonna abaali bayimiridde nga bamwetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'atuma Yekudi okukima omuzingo: n'aguggya mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi. Awo Yekudi n'agusoma mu matu ga kabaka ne mu matu g'abakungu bonna abaayimirira okuliraana kabaka.