Jeremiah 36:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gwali mwezi gwa mwenda, Kabaka yali mu lubiri lwe olw'obudde obw'empewo, n'omuliro nga gwaka mu kyoto awo mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gwali mwezi gwa mwenda ne kabaka yali atudde mu nnyumba etuulwamu mu budde obw’obutiti, ng’omuliro gwakira mu kibya kyagwo mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gwali mwezi gwa mwenda, era kabaka yali atudde mu nnyumba ey'ebiro eby'obutiti nga omuliro guli mu lubumbiro nga gwaka mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gwali mwezi gwa mwenda. Kabaka yali atudde mu maaso g'ekyoto omuli omuliro ogwaka, mu nnyumba mw'abeera mu budde obw'obutiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka yali atudde mu nnyumba ey'ebiro by'obutiti mu mwezi ogw'omwenda: era omuliro nga guli mu lubumbiro nga gwaka mu maaso ge.