Jeremiah 36:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yudi buli lwe yamalanga okusomako ebitundu bisatu oba bina, nga kabaka abisalako n'akambe k'omuwandiisi ng'abisuula mu muliro mu kyoto, okutuusa omuzingo gwonna lwe gwasirikkira mu muliro ogwali mu kyoto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli Yekudi lwe yasomangako empapula ssatu oba nnya ez’omuzingo, kabaka ng’azisala n’akambe k’omuwandiisi n’azisuula mu muliro okutuusa omuzingo gwonna lwe gwajjiira mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yekudi bwe yamala okusoma empapula ssatu oba nnya, kabaka n'agusala n'akambe ak'omuwandiisi, n'agusuula mu muliro ogwali mu lubumbiro, omuzingo ne guggiira mu muliro ogwali mu lubumbiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehudi bwe yamalanga okusoma empapula ssatu oba nnya, kabaka n'azisazisaako akambe k'omuwandiisi, n'azisuula mu muliro, okutuusa omuzingo gw'ekitabo gwonna lwe gwaggyiira mu muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yekudi bwe yamala okusoma empapula ssatu oba nnya, kabaka n'agusala n'akambe ak'omuwandiisi n'agusuula mu muliro ogwali mu lubumbiro, omuzingo ne guggiira mu muliro ogwali mu lubumbiro.