Jeremiah 36:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka kabaka, yadde abaweereza be, tekwali n'omu yeekanga ng'awulidde ebigambo ebyo, yadde okuyuza ebyambalo bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’abantu bonna abaawulira ebigambo bino tebaatya, wadde okuyuza engoye zaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye newakubadde Kabaka, wadde omu ku baddu be, abaawulira ebigambo ebyo byonna, tebaatya, so tebaayuza byambalo byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kabaka, wadde omu bw'ati ku bakungu be abaawulira ebigambo ebyo byonna, tebaatya wadde okulaga akabonero konna ak'okunakuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebaatya so tebaayuza byambalo byabwe, kabaka newakubadde abaddu be n'omu abaawulira ebigambo ebyo byonna.