Jeremiah 36:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nno Elunatani, Delaaya ne Gemariya beegayirira kabaka aleme kwokya muzingo, naye teyabawuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga Erunasani, ne Deraaya ne Gemaliya beegayirira kabaka obutayokya muzingo, teyabawuliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga Erunasani ne Deraya ne Gemaliya beegayirira kabaka aleme kwokya muzingo gwa kitabo, naye n'atakkiriza kubawuliriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde nga Elunatani ne Delaaya ne Gemariya beegayirira kabaka aleme kwokya muzingo gwa kitabo, kyokka teyabawuliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Erunasani ne Deraya ne Gemaliya baali bamwegayiridde kabaka obutayokya muzingo; naye n'atakkiriza kubawulira.