Jeremiah 36:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula kabaka yalagira omulangira Yerukumeeli mutabani wa kabaka, Seraaya mutabani wa Azuryeli, ne Selemiya mutabani wa Abudeeli, bakwate Baruku omuwandiisi ne Yeremiya omulanzi. Kyokka Omukama yali abakwese.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabaka yalagira Yerameeri mutabani wa kabaka ne Seraya mutabani wa Azulyeri ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne nnabbi Yeremiya, wabula Mukama ng’abakwese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'alagira Yerameeri omwana wa kabaka, ne Seraya mutabani wa Azuliyeeri, ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne Yeremiya nnabbi, naye Mukama n'abakweka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'alagira omulangira Yerameeli, ne Seraya mutabani wa Azuriyeeli, ne Selemiya mutabani wa Abudeeli okukwata Baruku omuwandiisi, nange, Yeremiya omulanzi. Kyokka Mukama n'atukweka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alagira Yerameeri omwana wa kabaka ne Seraya mutabani wa Azuliyeeri ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne Yeremiya nnabbi: naye Mukama n'abakweka.