Jeremiah 36:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka bwe yamala okwokya omuzingo gw'ebigambo Baruku bye yali awandiise nga Yeremiya abyogera, ekigambo ky'Omukama ne kijjira Yeremiya nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka ng’amaze okwokya omuzingo ogwalimu ebigambo Baluki bye yali awandiise nga Yeremiya abyogera, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya, kabaka ng'amaze okwokya omuzingo okwali ebigambo Baluki bye yawandiika, Yeremiya bye yamubuulira, nga kyogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga kabaka amaze okwokya omuzingo gw'ekitabo, omwali ebigambo bye nabuulira Baruku n'abiwandiika, Mukama n'aŋŋamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, kabaka ng'amaze okwokya omuzingo n'ebigambo Baluki bye yawandiika ng'abiggya mu kamwa ka Yeremiya, nga kyogera nti