Jeremiah 36:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kwata omuzingo omulala, owandiikeko ebigambo byonna, ebyali ku muzingo omubereberye Yoyakimu kabaka wa Yuda gwe yayokya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Twala omuzingo omulala oguwandiikeko ebigambo byonna ebyali ku muzingo ogwasooka, Yekoyakimu kabaka wa Yuda gwe yayokya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ddira nate omuzingo omulala, owandiike omwo ebigambo byonna ebyasooka ebyali mu muzingo ogwolubereberye Yekoyakimu kabaka wa Yuda gw'ayokezza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ddira omuzingo gw'ekitabo omulala, oguwandiikeko ebigambo byonna ebyali ku guli, Yehoyakiimu kabaka wa Buyudaaya gw'ayokezza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddira nate omuzingo omulala, owandiike omwo ebigambo byonna ebyasooka ebyali mu muzingo ogw'olubereberye Yekoyakimu kabaka wa Yuda gw'ayokezza.