Jeremiah 36:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate gamba Yoyakimu kabaka wa Yuda nti: ‘Oyokezza omuzingo guno ng'ogamba nti: “Lwaki owandiiseeko nti kabaka w'e Babiloni alijja n'azikiriza ensi eno, n'amaliramu ddala abantu n'ensolo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gamba ne Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Wayokya omuzingo ogwo n’ogamba nti, “Lwaki wakiwandiikamu nti kabaka w’e Babulooni alijja azikiririze ddala ensi eno agimalemu abantu n’ensolo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebikwata ku Yekoyakimu kabaka wa Yuda olyogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Oyokezza omuzingo guno ng'oyogera nti, Kiki ekikuwandiisizza mugwo ng'oyogera nti, Kabaka w'e Babbulooni talirema kujja n'azikiriza ensi eno, era alimalawo mu nsi omuntu n'ensolo?’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kabaka oyo omugambe nti: ‘Oyokezza omuzingo gw'ekitabo, n'obuuza Yeremiya kyeyava awandiika nti kabaka w'e Babilooni alijja n'azikiriza ensi eno, n'atta n'amalamu abantu n'ensolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebya Yekoyakimu kabaka wa Yuda olyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oyokezza omuzingo guno ng'oyogera nti Kiki ekikuwandiisizza omwo ng'oyogera nti Kabaka w'e Babulooni talirema kujja n'azikiriza ensi eno, era alimalawo omwo omuntu n'ensolo?