Jeremiah 36:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mpozzi ennyumba ya Yuda, bwe banaawulira buli kabi ke nteesa okubakola, buli omu anaakyuka n'ava mu kkubo ebbi; olwo nzija kubasonyiwa emisango gyabwe n'ebibi byabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oboolyawo abantu ba Yuda bwe banaawulira ku bikangabwa bye ntegeka okubateekako, buli omu ku bo anaakyuka okuleka amakubo ge amabi, ndyoke mbasonyiwe ebibi byabwe n’obutali butuukirivu bwabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpozzi ennyumba ya Yuda baliwulira obubi bwonna bwe nteesa okubakola; era buli muntu n'akyuka okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nsonyiwe obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oboolyawo abantu b'omu Buyudaaya bwe baliwulira ku kabi konna ke nteesa okubatuusaako, balikyuka ne bava mu mpisa zaabwe embi, ne mbasonyiwa ebibi byabwe n'emisango gyabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpozzi ennyumba ya Yuda baliwulira obubi bwonna bwe nteesa okubakola; era badde buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nsonyiwe obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe.