Jeremiah 36:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba ku Yoyakimu kabaka wa Yuda: Mu ye temuliva alituula ku nnamulondo ya Dawudi; ate omulambo gwe gulikasukirwa ebweru omusana emisana n'obutiti ekiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama eri Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti, Tajja kubeera na muntu n’omu kutuula ku ntebe ya Dawudi, n’omulambo gwe gulisuulibwa ebweru gwanikibwe mu musana emisana ne mu butiti ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama kyava ayogera ebikwata ku Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti ‘Taliba na wa kutuula ku nnamulondo ya Dawudi, n'omulambo gwe gulisuulibwa eri olubugumu emisana n'eri empewo ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, Nze Mukama nkugamba ggwe Kabaka Yehoyakiimu nti toliba na wa zzadde lyo alifuga bwakabaka bwa Dawudi. Omulambo gwo gulisuulibwa wabweru, gubeerenga mu bbugumu emisana, ate mu mpewo ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati ebya Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti Taliba na wa kutuula ku ntebe ya Dawudi n'omu: n'omulambo gwe gulisuulibwa eri olubugumu emisana n'eri empewo ekiro.