Jeremiah 36:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ŋŋenda kubabonereza, ye, ezzadde lye n'abaweereza be, olw'ensobi zaabwe; nzija kubaleetera, bo, abantu abasula mu Yeruzaalemu n'abantu ba Yuda, buli kabi ke nabawerera kubanga tebawulira.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndimubonereza n’abaana be, ne bakalabaalaba be olw’okwonoona kwabwe. Ndimuleetako ne bonna ababeera mu Yerusaalemi ne bonna ababeera mu Yuda buli kibonoobono kye naboogerako, kubanga tebawulirizza.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndimubonereza n'ezzadde lye n'abaddu be olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndibaleetako, ne bonna ababeera mu Yerusaalemi, ne ku basajja ba Yuda obubi bwonna bwe nnaakaboogerako, naye ne batawulira.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikubonereza ggwe n'ezzadde lyo, era n'abakungu bo olw'ebibi bye mwakola. Ndituusa ku mmwe ne ku batuuze b'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya akabi konna ke nagamba okubatuusaako, kubanga nabalabula ne mutafaayo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndimubonereza n'ezzadde lye n'abaddu be olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndibaleetako ne ku abo abali mu Yerusaalemi ne ku basajja ba Yuda obubi bwonna bwe nnaakaboogerako, naye ne batawulira.