Jeremiah 36:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yeremiya n'akwata omuzingo omulala, n'agukwasa Baruku omuwandiisi mutabani wa Neriya, ye n'awandiikako eno nga Yeremiya amugamba ebigambo byonna eby'omu kitabo Yoyakimu kabaka wa Yuda kye yali ayokezza. N'ebigambo ebirala bingi ebifaanana nga biri byayongerwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo Yeremiya n’atwala omuzingo omulala n’aguwa omuwandiisi Baluki mutabani wa Neriya; nga Yeremiya ayogera, Baluki yawandiikamu ebigambo byonna ebyali mu muzingo guli Yekoyakimu kabaka wa Yuda gwe yayokya mu muliro. N’ebigambo bingi ebifaanana bwe bityo byayongerwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya n'addira omuzingo ogwokubiri, n'aguwa Baluki omuwandiisi mutabani wa Neriya; ye n'awandiika mu muzingo ng'aggya mu bigambo Yeremiya bye yamubuulira, ebigambo byonna eby'omu kitabo Yekoyakimu kabaka wa Yuda kye yayokya mu muliro; era ne byongerwako ebigambo bingi ebibifaanana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nzirira omuzingo gw'ekitabo omulala, ne nguwa Baruku omuwandiisi wange, n'awandiika byonna ebyali mu muzingo gw'ekitabo Yehoyakiimu gwe yayokya mu muliro, nga kwongeddwako n'ebirala bingi ebibifaanana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya n'addira omuzingo ogw'okubiri, n'agumuwa Baluki omuwandiisi mutabani wa Neriya; ye n'awandiika omwo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya ebigambo byonna eby'omu kitabo Yekoyakimu kabaka wa Yuda kye yayokya mu muliro: era ne byongerwako ebigambo bingi ebibifaanana.