Jeremiah 36:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya n'ayita Baruku, mutabani wa Neriya; Yeremiya bwe yalinga ayogera ebigambo Omukama bye yali amugambye, eno nga Baruku abiwandiika ku muzingo gw'ekitabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeremiya n’ayita Baluki mutabani wa Neriya, era nga Yeremiya ayogera ebigambo byonna Mukama bye yali ayogedde naye, Baluki n’abiwandiika ku muzingo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya n'ayita Baluki mutabani wa Neriya; Baluki n'awandiika ku muzingo gw'ekitabo, nga Yeremiya bwe yamubuulira ebigambo byonna ebya Mukama, bye yali ayogedde naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mpita Baruku mutabani wa Neriya, ne mubuulira byonna Mukama bye yayogera nange, n'abiwandiika ku muzingo gw'ekitabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya n'ayita Baluki mutabani wa Neriya; Baluki n'awandiika ku muzingo gw'ekitabo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya ebigambo byonna ebya Mukama bye yali amubuulidde.