Jeremiah 36:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe gendayo ku lunaku olw'okusiiba, awo abantu nga bawulira, obasomere ng'oggya ku muzingo ebigambo by'Omukama by'owandiise eno bwe mbadde nga njogera. Bisomere abantu ba Yuda yenna abavudde mu bibuga byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale laga mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw’okusiiba osomere abantu ebigambo bya Mukama ebiri ku muzingo by’owandiise nga njogera. Bisomere abantu ba Yuda bonna abava mu bibuga byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale genda ggwe osome mu muzingo gw'owandiise ng'oggyamu bigambo bye nkubuulidde, ebigambo bya Mukama mu matu g'abantu mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw'okusiibirako; era obisomanga ne mu matu g'abantu bonna aba Yuda abava mu bibuga byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ggwe gendayo, ku lunaku abantu lwe basiibirako, osome mu lwatu, bonna bawulire ebigambo bya Mukama bye nkutegeezezza n'obiwandiika ku muzingo gw'ekitabo. Obisome nga n'abo bonna abavudde mu bibuga byabwe ebirala eby'omu Buyudaaya bawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale genda ggwe osome mu muzingo gw'owandiise ng'oggya mu kamwa kange ebigambo bya Mukama, mu matu g'abantu mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw'okusiibirako: era obisomanga ne mu matu g'aba Yuda bonna abava mu bibuga byabwe.