Jeremiah 36:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oboolyawo okuwanjaga kwabwe kunaatuuka ew'Omukama, buli omu n'aleka empisa ze embi, anti obusungu n'obuswandi eby'Omukama by'ayogeredde abantu bano binene.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oboolyawo banaaleeta okwegayirira kwabwe eri Mukama, era buli omu anaava mu makubo ge amabi, kubanga obusungu n’ekiruyi Mukama by’agambye okutuusa ku bantu bano binene nnyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpozzi balireeta okwegayirira kwabwe mu maaso ga Mukama, ne bakyuka buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; kubanga obusungu n'ekiruyi Mukama by'ayogedde ku bantu bano binene.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oboolyawo balyegayirira Mukama, ne bava mu mpisa zaabwe embi, kubanga Mukama by'agambye okubakolako mu busungu ne mu kiruyi kye, binene.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpozzi balireeta okwegayirira kwabwe mu maaso ga Mukama, ne badda buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi: kubanga obusungu n'ekiruyi Mukama by'ayogedde eri abantu bano binene.