Jeremiah 36:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baruku mutabani wa Neriya n'atuukiriza byonna omulanzi Yeremiya bye yamulagira, n'asoma mu kitabo ebigambo bya Yeremiya ku Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baluki mutabani wa Neriya n’akola byonna nnabbi Yeremiya bye yamugamba okukola; n’asomera, ebigambo bya Mukama okuva mu muzingo, mu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Baluki mutabani wa Neriya n'akola nga byonna bwe byali Yeremiya nnabbi bye yamulagira, ng'asoma mu kitabo ebigambo bya Mukama mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Baruku mutabani wa Neriya n'akola nga bwe namulagira. N'asoma mu muzingo gw'ekitabo, ebigambo bya Mukama mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Baluki mutabani wa Neriya n'akola nga byonna bwe byali Yeremiya nnabbi bye yamulagira, ng'asoma mu kitabo ebigambo bya Mukama mu nnyumba ya Mukama.