Jeremiah 36:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwokutaano ogwa Yoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogwomwenda, abantu bonna mu Yeruzaalemu n'abalala bonna abaali bazze mu Yeruzaalemu nga bava mu bibuga bya Yuda, baalangirira ekisiibo mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwezi ogwomwenda ogw’omwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekiseera eky’okusiibira mu maaso ga Mukama kyalangirirwa eri abantu bonna mu Yerusaalemi era n’abo abaali bavudde mu bibuga bya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'omwenda, abantu bonna abaali mu Yerusaalemi n'abantu bonna abaava mu bibuga bya Yuda ne bajja e Yerusaalemi ne balangirira okusiiba mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwezi ogw'omwenda ogw'omwaka ogwokutaano nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Buyudaaya, baalangirira ekisiibo mu maaso ga Mukama. Abantu bonna ab'omu Yerusaalemu, n'abajjayo nga bava mu bibuga ebirala ebya Buyudaaya, ne basiiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'omwenda, abantu bonna abaali mu Yerusaalemi n'abantu bonna abaava mu bibuga bya Yuda ne bajja e Yerusaalemi ne balangira okusiiba mu maaso ga Mukama.