Jeremiah 37:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe mwandibadde nga muvunjaze Abakaludeya bonna ababalwanyisa, abaafumitibwa bokka abasigaddewo, bandisituse buli kinnoomu okuva mu weema zaabwe ne bookya ekibuga kino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wadde nga mwandiwangudde, eggye lyonna erya Babulooni eribalumbye, abatuusiddwako ebisago bokka nga be basigadde mu weema zaabwe, bandivuddeyo ne bookya ekibuga kino.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kuba newakubadde nga mwandigobye eggye lyonna ery'Abakaludaaya abalwana nammwe, ne musigala mu bo ab'ebiwundu bokka, abagalamidde mu weema zaabwe, era abo banaagolokoka ne bookya ekibuga kino omuliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe munaawangula eggye lyonna ery'Abakaludaaya ababalwanyisa, ne wasigalwo mu bo ab'ebiwundu bokka, abagalamidde mu weema zaabwe, era abo banaagolokoka ne bookya ekibuga kino omuliro.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba newakubadde nga mwandigobye eggye lyonna ery'Abakaludaaya abalwana nammwe ne musigala mu bo ab'ebiwundu bokka, era naye bandigolokose buli muntu mu weema ye ne bookya ekibuga kino omuliro: