Jeremiah 37:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya n'asituka okuva mu Yeruzaalemu agende mu nsi ya Benyamiini agabane ekitundu kye mu bantu baayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeremiya n’ava mu kibuga agende mu bitundu bya Benyamini afune omugabo gwe ogw’ebintu mu bantu eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale Yeremiya n'afuluma mu Yerusaalemi okugenda mu nsi ya Benyamini okuweebwa omugabo gwe mu bantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne nva mu Yerusaalemu okugenda mu kitundu kya Benyamiini okufuna omugabo gwange mu bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale Yeremiya n’afuluma mu Yerusaalemi okugenda mu nsi ya Benyamini okuweebwa omugabo gwe eyo wakati mu bantu.