Jeremiah 37:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamiini, omukulu w'abakuumi ayitibwa Yiriya mutabani wa Selemiya, mutabani wa Ananiya, n'akwata Yeremiya omulanzi nga bw'agamba nti: “Oddukira mu Bakaludeya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamini, Omukulu w’abaserikale eyali ayitibwa Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya n’amukwata n’agamba nti, “Ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali ku mulyango gwa Benyamini, omukulu w'abambowa eyali awo, erinnya lye Iriya mutabani wa Seremiya, Seremiya mutabani wa Kananiya; n'akwata Yeremiya nnabbi ng'ayogera nti, “Otoloka osenge Abakaludaaya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe natuuka mu Mulyango gwa Benyamiini, omukulu w'abakuumi eyali awo, erinnya lye Yiriya, mutabani wa Selemiya, era muzzukulu wa Ananiya, n'annyimiriza ng'agamba nti: “Otoloka weegatte ku Bakaludaaya!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali mu mulyango gwa Benyamini, omukulu w'abambowa yali ali eyo, erinnya lye Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya; n'akwata Yeremiya nnabbi ng'ayogera nti Osenga Abakaludaaya.