Jeremiah 37:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya n'addamu nti “Si kituufu. Siddukira mu Bakaludeya.” Naye Yiriya teyawuliriza, yakwata bukwasi Yeremiya n'amutwala eri abakungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeremiya n’amuddamu nti, “Ompayiriza! Sigenda kusenga Bakaludaaya.” Naye Iriya n’atamuwuliriza; n’akwata Yeremiya n’amutwala eri abakungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Olimba sitoloka kusenga Bakaludaaya;” naye Iriya n'atamuwuliriza, era n'akwata Yeremiya n'amuleeta eri abakungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nziramu nti: “Sitoloka kwegatta ku Bakaludaaya.” Naye Yiriya n'atampuliriza, wabula n'ankwata era n'antwala eri abakungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya n'ayogera nti Olimba; sisenga Bakaludaaya; naye n'atamuwulira: kale Iriya n'akwata Yeremiya n'amuleeta eri abakungu.