Jeremiah 37:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma kabaka Zedekiya yamutumya n'amuleeta ewuwe mu lubiri, n'amubuuza mu kyama nti: “Waliwo ekigambo kyonna okuva ew'Omukama?” Yeremiya n'addamu nti: “Weekiri.” Ate era n'ayongerako nti: “Ogenda kuweebwayo mu mikono gya kabaka w'e Babiloni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Zeddekiya n’amutumya n’amuleeta mu lubiri gye yamubuuliza mu kyama nti, “Olinayo ekigambo kyonna okuva eri Mukama?” Yeremiya n’addamu nti, “Weewaawo, ojja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo Zeddekiya kabaka n'amutumya era naamusembeza; kabaka n'amubuuza kyama mu nnyumba ye n'ayogera nti, “Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Mukama?” Awo Yeremiya n'ayogera nti, “Weekiri.” Era n'ayogera nti, “Oliweebwayo mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka Zeddeekiya n'antumya. Era nga tuli mu lubiri, kabaka n'ambuza mu kyama nti: “Waliwo obubaka obuvudde eri Mukama?” Ne nziramu nti: “Weebuli. Ojja kuweebwayo mu mikono gya kabaka wa Babilooni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo Zeddekiya kabaka n'atuma n'amukima: kabaka n'amubuuza kyama mu nnyumba ye n'ayogera nti Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Mukama? Awo Yeremiya n'ayogera nti Weekiri. Era n'ayogera nti Oliweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni.