Jeremiah 37:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yeremiya n'abuuza kabaka Zedekiya nti: “Nabakola kabi ki ggwe n'abaweereza bo, oba abantu bano, mulyoke munsuule mu kkomera?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeremiya n’agamba Kabaka Zeddekiya nti, “Musango ki gwe nzizizza gy’oli oba eri abakungu bo oba abantu bano; mulyoke munteeke mu kkomera?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate Yeremiya n'agamba kabaka Zeddekiya nti, “Nali nkwonoonye mu ki ggwe, oba abaddu bo, oba abantu bano, n'okuteeka ne munteeka mu kkomera?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mbuuza Kabaka Zeddeekiya nti: “Kibi ki kye nakukola ggwe, oba kye nakola abaweereza bo, oba abantu bano, olyoke onsibe mu kkomera?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Yeremiya n'agamba kabaka Zeddekiya nti Nali nkwonoonye mu ki oba abaddu bo oba abantu bano, n'okuteeka ne munteeka mu kkomera?