Jeremiah 37:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati abalanzi bammwe bali ludda wa abaabagambanga nti: ‘Kabaka w'e Babiloni tagenda kujja kubalumba, yadde okulumba ensi eno’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannabbi bo baluwa abakulagula nti, ‘Kabaka w’e Babulooni tajja kukulumba ggwe wadde ensi eno?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bannabbi bammwe nno bali ludda wa abaabalagulanga nga boogera nti Kabaka w'e Babbulooni talibatabaala mmwe, newakubadde ensi eno?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi bammwe bali ludda wa abaabalagula nti kabaka w'e Babilooni talibalumba mmwe, wadde okulumba ensi eno?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bannabbi bammwe nno bali ludda wa abaabalagulanga nga boogera nti Kabaka w'e Babulooni talibatabaala, newakubadde ensi eno?