Jeremiah 37:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye, abakungu be, yadde abantu b'omu nsi tewaali yassa mwoyo ku bigambo Omukama bye yayogerera mu muweereza we Yeremiya omulanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula ye wadde abakungu be wadde abantu ab’omu nsi tebaafaayo ku bigambo Mukama bye yali ayogedde ng’ayita mu nnabbi Yeremiya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye newakubadde Zeddekiya, oba abaddu be wadde abantu ab'omu nsi, tebawulira bigambo bya Mukama bye yayogerera mu nnabbi Yeremiya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Zeddeekiya n'abakungu be era n'abantu abalala mu ggwanga, tebaawulira bubaka, Mukama bwe yayogerera mu nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye teyawuliranga bigambo bya Mukama bye yayogerera mu nnabbi Yeremiya, ye newakubadde abaddu be newakubadde abantu ab'omu nsi.