Jeremiah 37:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kaakano, Mukama wange kabaka, kkiriza owulirize, kkiriza okuwanjaga kwange, tonsindika nate mu nnyumba ya Yonatani omuwandiisi, sikulwa nga nfiirayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano mukama wange kabaka nsaba owulirize, nkwegayirira, tonzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, kuba nandifiira eyo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno wulira, nkwegayiridde, ayi mukama wange kabaka, okwegayirira kwange kukkirizibwe mu maaso go, nkwegayiridde; oleme okunziza mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, nneme okufiira omwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, Ssaabasajja, nkwegayiridde, okkirize kye nkusaba: tonzizaayo mu nnyumba ya Yonataani, nneme okufiira omwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno wulira, nkwegayiridde, ai mukama wange kabaka: okwegayirira kwange kukkirizibwe mu maaso go, nkwegayiridde; oleme okunziza mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, nneme okufiira omwo.