Jeremiah 37:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka Zedekiya n'alagira okuteeka Yeremiya mu luggya lw'abakuumi, n'okumuleeteranga buli lunaku omugaati omuvumbike ogw'oluwewere nga guva mu kyalo ky'abafumbiro, okutuusa ng'emmere ebulidde ddala mu kibuga. Yeremiya bw'atyo n'asigala mu luggya lw'abakuumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Zeddekiya n’alyoka alagira Yeremiya okuteekebwa mu luggya lw’abakuumi n’aweebwanga omugaati buli lunaku okuva ew’omufumbi waagyo mu Yerusaalemi, okutuusa emigaati lwe gyaggwa mu kibuga. Awo Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abaserikale abakuumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kabaka Zeddekiya n'alagira ne bateeka Yeremiya mu luggya olw'abambowa, ne bamuwa buli lunaku omugaati okuva luguudo abafumbi b'emigaati kwe baabeeranga, okutuusa emigaati gyonna egy'omu kibuga lwe gyaggwaawo. Awo Yeremiya n'abeera bw'atyo mu luggya olw'abambowa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Zeddeekiya n'alagira, ne bansibira mu luggya lw'olubiri. Ne mbeera omwo, ne mpeebwanga buli lunaku omugaati gumu, okuva mu bafumbi b'emigaati, okutuusa emigaati gyonna lwe gyaggwaawo mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale Zeddekiya kabaka n'alagira ne bateeka Yeremiya mu luggya olw'abambowa, ne bamuwa buli lunaku omugaati okuva ku luguudo abafumbi b'emigaati kwe baabeeranga, okutuusa emigaati gyonna egy'omu kibuga lwe gyaggwaawo. Awo Yeremiya n'abeera bw'atyo mu luggya olw'abambowa.