Jeremiah 37:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Zedekiya n'atuma Yukali mutabani wa Selemiya ne kabona Zefaniya mutabani wa Maaseeya eri Yeremiya omulanzi bamugambe nti: “Tukwegayiridde tusabire ew'Omukama Katonda waffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula kabaka Zeddekiya n’atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, bamutegeeze nti, “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Zeddekiya n'atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, ng'agamba nti, “Tusabire nno eri Mukama Katonda waffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Zeddeekiya n'antumira Yehukaali mutabani wa Selemiya, ne kabona Zefaniya, mutabani wa Maaseya, n'aŋŋamba nti: “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zeddekiya kabaka n'atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, ng'ayogera nti Tusabire nno eri Mukama Katonda waffe.