Jeremiah 37:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggye lya Faraawo lyali lisitudde okuva mu Misiri; Abakaludeya abaali bazinze Yeruzaalemu olwakiwulira, ne bagumbulukuka ku Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggye lya Falaawo lyali livudde e Misiri era Abakaludaaya abaali balumbye Yerusaalemi bwe baakiwulira, ne bava e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eggye lya Falaawo lyali livudde mu Misiri; awo Abakaludaaya abaali bazingizizza Yerusaalemi bwe baawulira amawulire agabakwatako, ne basaasaana okuva mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakaludaaya baali bazingizizza Yerusaalemu. Naye bwe baawulira ng'eggye lya Misiri livudde mu Misiri, ne bavaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eggye lya Falaawo lyali livudde mu Misiri; awo Abakaludaaya abaali bazingizza Yerusaalemi bwe baawulira ebigambo byabwe, ne basaasaana okuva ku Yerusaalemi.