Jeremiah 37:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Kabaka wa Yuda akutumye gye ndi okunneebuuzaako mugambe nti: ‘Eggye lya Faraawo eribadde lijja okubayamba, lijja kuddayo mu nsi yaalyo Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okunnebuuzako nti, ‘Eggye lya Falaawo erizze okubayambako, lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, Bwe muti bwe muba mugamba kabaka wa Yuda eyabatuma gye ndi okumbuuza; nti Laba, eggye lya Falaawo eribadde lizze, lijja kuddayo mu nsi yaalyo Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka wa Buyudaaya eyakutuma gye ndi okumbuuza, mugambe nti: ‘Eggye lya Misiri eribadde lijja okubayamba, lijja kuddayo mu nsi yaalyo Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Bwe muti bwe muba mugamba kabaka wa Yuda eyabatuma gye ndi okumbuuza; nti Laba, eggye lya Falaawo eritabadde okubayamba liridda mu Misiri mu nsi yaabalyo.