Jeremiah 37:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: Muleke kwerimba nga mugamba nti: ‘Abakaludeya bagenda kutuviirako ddala.’ Bwereere, si ba kuddayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwerimbarimba nga mulowooza nti, ‘Abakaludaaya ddala baakutuleka.’ Tebajja kubaleka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Temwerimba nga mwogera nti “Abakaludaaya tebalirema kutuvaako;” kubanga tebalibavaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama mbalabula muleme kwerimba nti Abakaludaaya tebajja kudda, kubanga bajja kudda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temwerimba nga mwogera nti Abakaludaaya tebalirema kutuvaako: kubanga tebalibavaako.