Jeremiah 38:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Sefatiya mutabani wa Mattani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuru, ne Yukali mutabani wa Selemiya, ne Pasukuru mutabani wa Malukiya, ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yabuulira abantu bonna ng'agamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sefatiya mutabani wa Mattani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yali agamba abantu bonna nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sefatiya mutabani wa Mallani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Seremiya ne Pasukuli mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yabuulira abantu bonna ng'ayogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Safatiya mutabani wa Mattani, ne Gadaliya mutabani wa Pasuhuuri, ne Yuhukaali mutabani wa Selemiya, ne Pasuhuuri mutabani wa Malukiya, ne bawulira ebigambo bye nategeeza abantu bonna nti
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sefatiya mutabani wa Mallani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Seremiya ne Pasukuli mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yabuulira abantu bonna ng'ayogera nti