Jeremiah 38:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka n'alagira Ebedi-Meleki Omukuusi nti: “Laba wano abasajja amakumi asatu, oggye Yeremiya omulanzi mu luzzi nga tannafa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’alagira Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, “Twala abasajja amakumi asatu okuva wano musitule nnabbi Yeremiya okuva mu kinnya nga tannafa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'alyoka alagira Ebedumereki Omuwesiyopya ng'ayogera nti, “Twala abasajja asatu (30), ogende nabo, oggyeyo Yeremiya nnabbi mu luzzi nga tannafa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'alagira Ebedumeleki Omwetiyopiya nti: “Genda n'abasajja basatu, muggyeyo omulanzi Yeremiya mu luzzi, nga tannafa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alyoka alagira Ebedumereki Omuwesiyopya ng'ayogera nti Ggya wano abasajja amakumi asatu obatwale ogende nabo, olinnyise Yeremiya nnabbi ng'omuggya mu bunnya nga tannafa.