Jeremiah 38:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebedi-Meleki n'atwala abasajja abo, n'ayingira mu nnyumba ya kabaka wansi mu ggwanika, n'aggyamu ebiziina n'ebigoye ebikadde, n'abisuulira Yeremiya mu luzzi ku miguwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ebedumeleki n’atwala abasajja ne bagenda mu kisenge wansi w’etterekero ly’ensimbi mu lubiri. Nakwata ebigoye ebimu ebikadde n’engoye enziinaziina n’abissa awamu n’emiguwa eri Yeremiya mu kinnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Ebedumereki n'atwala abasajja abo n'agenda nabo, n'ayingira mu nnyumba ya kabaka, mu kasenge ak'etterekero, n'aggyayo ebiwero ebikadde ebyasuulibwa n'enziina envundu, ebyo n'abissiza ku migwa mu luzzi Yeremiya mwe yali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebedumeleki n'agenda n'abasajja abo, n'ayingira mu ggwanika ly'omu lubiri, n'aggyayo ebigoye ebikadde ebiyulise, n'abinsuulira mu luzzi, ng'abissiza ku muguwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Ebedumereki n'atwala abasajja abo n'agenda nabo, n'ayingira mu nnyumba ya kabaka wansi w'eggwanika, n’aggyayo ebiwero ebikadde ebyasuulibwa n’enziina envundu n'azissiza ku migwa mu bunnya eri Yeremiya.