Jeremiah 38:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebedi-Meleki Omukuusi n'agamba Yeremiya nti: “Ebiziina ebyo n'ebigoye ebikadde biteeke mu nkwawa weyambikireko omuguwa.” Ne Yeremiya bwe yakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebedumeleki Omuwesiyopya n’agamba Yeremiya nti, “Teeka ebigoye bino ebikadde wansi w’enkwawa zo okunyweza emiguwa wansi w’emikono gyo.” Yeremiya n’akola bw’atyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Ebedumereki Omuwesiyopya n'agamba Yeremiya nti, “Teeka nno ebiwero bino ebikadde, n'enziina envundu mu nkwawa zo wansi w'emigwa.” Awo Yeremiya n'akola bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ebedumeleki Omwetiyopiya n'aŋŋamba nti: “Ebigoye ebyo ebikadde, era ebiyulifu, biteeke mu nkwawa zo, emiguwa gireme kukusala.” Ne nkola bwe ntyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Ebedumereki Omuwesiyopya n'agamba Yeremiya nti Teeka nno ebiwero bino ebikadde ebyasuulibwa n'enziina envundu mu nkwawa zo wansi w'emigwa. Awo Yeremiya n'akola bw'atyo.