Jeremiah 38:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne basikayo Yeremiya n'emiguwa, ne bamuggya mu luzzi. Yeremiya n'asigala mu luggya lw'abakuumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamusikayo n’emiguwa ne bamuggya mu kinnya. Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne baggya Yeremiya mu luzzi nga bamusika n'emigwa egyo, awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bansikayo mu luzzi nga bakozesa emiguwa, ne nkuumirwa mu luggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne baggya Yeremiya mu bunnya nga bamuwalula n'emigwa egyo: awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa.