Jeremiah 38:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Zedekiya yatumya Yeremiya omulanzi, n'agamba atwalibwe ku mulyango ogwokusatu ogw'Ekiggwa ky'Omukama. Kabaka n'agamba Yeremiya nti: “Nnina kye nkubuuza. Tonkisa kantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Zeddekiya n’atumya nnabbi Yeremiya bamuleete ku mulyango ogwokusatu ogwa yeekaalu ya Mukama. Kabaka n’agamba Yeremiya nti, “Nnina kye ŋŋenda okukubuuza. Tobaako ky’onkweka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zeddekiya kabaka n'atumya Yeremiya nnabbi, era n'amusisinkana ku mulyango ogwokusatu oguli mu nnyumba ya Mukama; awo kabaka n'agamba Yeremiya nti, “Naakubuuza ekigambo; tonkisa kigambo kyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Zeddeekiya n'antumya okujja gy'ali ku mulyango ogwokusatu ogw'Essinzizo, n'aŋŋamba nti: “Nnina kye njagala okubuuza, era okinziremu nga tonkisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zeddekiya kabaka n'atuma n'aleeta Yeremiya nnabbi gy'ali mu mulyango ogw'okusatu oguli mu nnyumba ya Mukama: awo kabaka n'agamba Yeremiya nti Naakubuuza ekigambo; tonkisa kigambo kyonna.