Jeremiah 38:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya n'agamba Zedekiya nti: “Bwe nnaakikubuulira, tonzite? Wuuno ne bwe nandikuwadde amagezi, tewandimpulirizza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakuddamu tonzite? Ne bwe nnaakuwa amagezi tojja kumpuliriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya n'agamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakubuulira, tonzite? Era ne bwe nnaakuwa amagezi, tojja kumpuliriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nziramu nti: “Bwe nnaakubuulira nga sikukisa ojja kunzita, era bwe nnaakuwa amagezi, tojja kumpuliriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya n'agamba Zeddekiya nti Bwe nnaakubuulira, tonzite? era bwe nnaakuweerera amagezi, tompulirize.