Jeremiah 38:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Zedekiya n'alayirira Yeremiya mu kyama nti: “Mazima Omukama nga mulamu, eyatuwa omwoyo, sijja kukutta, era sijja kukuwa mu mikono gya basajja bano abanoonya obulamu bwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabaka Zeddekiya n’alayira ekirayiro mu kyama eri Yeremiya nti, “Nga Katonda bw’ali omulamu, eyatuwa omukka gwe tussa, sijja kukutta wadde okukuwaayo eri abo abanoonya okukutta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Zeddekiya n'alayirira Yeremiya, mu kyama ng'ayogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, eyakola emmeeme zaffe, sijja kukutta, wadde okukuwaayo mu mukono gw'abantu bano abanoonya obulamu bwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Zeddeekiya n'andayirira mu kyama nti: “Ndayidde Katonda Nnannyinibulamu, era eyatuwa obulamu, nti sijja kukutta era sijja kukuwaayo eri abo abatakwagaliza bulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zeddekiya kabaka n'alayirira kyama Yeremiya ng'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyatukolera emmeeme eno, sirikutta, so sirikuwaayo mu mukono gw'abantu bano abanoonya obulamu bwo.