Jeremiah 38:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yeremiya kwe kugamba Zedekiya nti: “Omukama Katonda w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: Bw'onoofuluma ne weewaayo eri abagabe ba kabaka w'e Babiloni, obulamu bwo bujja kuwona n'ekibuga kino tekigenda kuteekerwa muliro; ggwe n'ab'omu maka go mujja kulama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Singa weewaayo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ojja kukuumibwa bulungi tootuukibweko kabi konna, n’ekibuga kino tekijja kwokebwa; ggwe n’ab’omu maka go munaabeera balamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya n'alyoka agamba Zeddekiya nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Bw'onoofuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babbulooni, kale obulamu bwo buliwonyezebwa, n'ekibuga kino tekiryokebwa muliro; era gwe n'ennyumba yo muliba balamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndyoka ŋŋamba Zeddeekiya nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Bw'onoofuluma n'ogenda weewaayo eri abakungu ba kabaka wa Babilooni, onoowonya obulamu bwo, era ekibuga kino tekijja kwokebwa muliro. Ggwe n'ab'ennyumba yo mujja kuba balamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya n'alyoka agamba Zeddekiya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Bw'onoofuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babulooni, kale emmeeme yo eriba nnamu n'ekibuga kino tekiryokebwa muliro;