Jeremiah 38:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bw'otokkirize kwewaayo eri bagabe ba kabaka w'e Babiloni, ekibuga kino kijja kuweebwa mu mikono gy'Abakaludeya bakiteekere omuliro, ate naawe togenda kubasumattuka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’oteweeyo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo eri Abakaludaaya bakyokye; nawe wennyini tojja kubawona.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'oteweeyo eri abakungu ba kabaka w'e Babbulooni, kale ekibuga kino kiriweebwayo mu mukono gw'Abakaludaaya, era balikyokya omuliro, so naawe toliwona mu mukono gwabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'onoogaana okufuluma era n'oteewaayo eri abakungu ba kabaka wa Babilooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo mu mikono gy'Abakaludaaya, bakyokye omuliro, era naawe togenda kubasumattuka.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naawe oliba mulamu n'ennyumba yo: naye bw'otokkirize kufuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babulooni, kale ekibuga kino kiriweebwayo mu mukono gw'Abakaludaaya, era balikyokya omuliro, so naawe tolawona mu mukono gwabwe.