Jeremiah 38:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka Zedekiya n'agamba Yeremiya nti: “Ntya Abayudaaya abeegatta ku Bakaludeya, kubanga Abakaludeya bayinza okumpaayo mu mikono gyabwe ne banjolonga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Ntya Abayudaaya abaddukidde mu Babulooni, kubanga Abakaludaaya bayinza okumpaayo gye bali ne bambonyaabonya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Zeddekiya n'agamba Yeremiya nti, “Ntidde Abayudaaya abasenze Abakaludaaya, bayinza okumpaayo eri Abakaludaaya ne bambonyaabonya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Zeddeekiya n'addamu nti: “Ntya Abayudaaya abeewaayo mu Bakaludaaya. Nnyinza okuweebwayo mu mikono gyabwe ne bambonyaabonya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zeddekiya kabaka n'agamba Yeremiya nti ntidde Abayudaaya abasenze Abakaludaaya baleme okumpaayo mu mukono gwabwe, ne banduulira.