Jeremiah 38:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama kino ky'agamba: ‘Buli alisigala mu kibuga kino, alifa ekitala, enjala oba kawumpuli. Naye buli alikifuluma ne yeewaayo mu mikono gy'Abakaludeya ababazinze, alisumattukayo nga mulamu; aliba mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Buli muntu anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala oba kawumpuli, naye buli afuluma n’agenda eri Abakaludaaya ajja kuba mulamu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Asigala mu kibuga muno alifa ekitala, n'enjala, ne kawumpuli; naye oyo anafuluma n'agenda eri Abakaludaaya, aliba mulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali, era aliba mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Buli anaasigala mu kibuga kino, wa kufiira mu lutalo, oba anaafa enjala, oba endwadde. Naye buli anaafuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya, tattibwe. Oyo waakiri anaawonya obulamu bwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Asigala mu kibuga muno alifa ekitala n'enjala ne kawumpuli naye oyo afuluma n'agenda eri Abakaludaaya aliba mulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali, era aliba mulamu.