Jeremiah 38:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya n'addamu nti: “Tebagenda kukuwaayo. Nkwegayiridde, wuliriza eddoboozi ly'Omukama, okole kye nkugamba, olwo onooba bulungi, obulamu bwo bujja kuwona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeremiya n’amuddamu nti, “Tebaakuweeyo. Ggwe gondera Mukama Katonda ng’okola kye nkugamba. Olwo binaakugendera bulungi, nawe tojja kuttibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yeremiya n'ayogera nti, “Tebalikuwaayo, nkwegayiridde, gondera eddoboozi lya Mukama mu ekyo kye nkugamba; kale lw'onoobera obulungi, era n'obulamu bwo bunawonyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze ne ŋŋamba nti “Tojja kuweebwayo. Nkwegayiridde, gondera obubaka bwa Mukama mu ekyo kye nkugamba, lw'onoobeera obulungi, era onoowonya obulamu bwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yeremiya n'ayogera nti Tebalikuwaayo, nkwegayiridde, gondera eddoboozi lya Mukama mu ekyo kye nkugamba: kale lw'oliba obulungi, n'emmeeme yo eriba nnamu.